EBIFA KU MUZIMU – Nuuhu Uthman Kibuuka

EBIFA-KU-MUZIMU-Nuuhu-Uthman-Kibuuka-PDF-DOCX

EBIFA-KU-MUZIMU-Nuuhu-Uthman-Kibuuka-PDF-DOCX

EBIRI MUNDA

ENNYANJULA

LWAKI NAWANDIIKA KU MUZIMU

OMUZIMU KYE KKI?

OBUJULIZI OBULAGA NTI BULI MUNTU ALIKO OMUZIMU

OMUZIMU GUSOBOLA OKUSIRAMUKA?

OMUZIMU GWEKUUMIRA NNYO MU LULYO LW’OMUFU

EMIZIMU GYEKUUMIRA NNYO KU BISIGALIRA BY’OMUFU

OKUTUULA KU MALIBA G’EBISOLO EBIKAMBWE TEKIKKIRIZIBWA

OKUKWATA OMUZIMU GW’OMUNTU

OMUZIMU OKULULUMA

ENSIBUKO Y’OBUTASINZA ALLAH KWALI KUSINZA MIZIMU

ABASIRAAMU ABAMU BASINZA EMIZIMU N’AMAJIINI

OMUZIMU NAGWO GUFA

OMUZIMU SSI GWE MWOYO

ENJAWULO WAKATI W’EJJIINI N’OMUZIMU (QARIINU)

ENDOOTO EZIMU ZIYITA KU MIZIMU

OKUMALIRIZA

EBITABO EBIRALA EBY’OMUWANDIISI

ENNYANJULA

Ebitendo byonna ebirungi bya Allah, tumutendereza ne tumusaba okutuyamba, tumusaba okutusonyiwa era tumusaba atuwonye obubi bw’emitima gyaffe n’obubi bw’ebikolwa byaffe. Oyo yenna Allah gw’aba alungamizza teri asobola kumubuza, era gw’aba abuzizza teri asobola kumulungamya. Nkakasa (mu mutima gwange era ne njatuza n’olulimi lwange), nti (mu biriwo byonna) teri kisinzibwa (mu butuufu) okujjako Allah yekka atalina kimugattibwako, era nkakasa (mu mutima gwange) nti Muhammad (yali) muddu we era Mubaka we”.

“يَاأَيُّهَاالَّذِيْنَءَامَنُوْااتَّقُوْااللَّهَحَقَّتُقأتِهِوَلاَتَمُوْتُنَّإِلَّاوَاَنْتُمْمُّسْلِمُوْنَ”.(سورةآلُعمران:۱۰۲).

“Abange mmwe Abakkiriza, mutye Allah mu butuufu bw’okumutya, temutuukibwangakookufa okujjako nga muli Basiraamu”.(Suurat al-Im’raan: Aya 102).

“يَاأَيُّهَاالنَّاسُاتَّقُوْارَبَّكُمْالَّذِيْخَلَقَكُمْمِنْنَفْسٍوَاحِدَةٍوَخَلَقَمِنْهَازَوْجَهَاوَبَثَّمِنْهُمَارِجَالاًكَثِيْرًاوَنِسَاءً،وَاتَّقُوْااللهالَّذِيْتَسَائَلُوْنَبِهِوَالأَرْحَامَإِنَّاللهكَانَعَلَيْكُمْرَقِيْبًا”.(سورةالنساء: آية۱).

“Abange mmwe abantu, mutye Katonda wammwe oyo eyabatonda ng’abajja mu mwoyo ogumu, era mwe yatonda mukyala waagwo, n’azaalukusa okuva mu gyo (gyombi) abasajja bangi n’abakyala. Mutye Allah oyo gwe musabiragana ku lulwe, Allah kuva dda nga mutunuulizi gye muli”.(Suurat al-Nisaa-i : Aya1).

“يَاأَيُّهَاالَّذِيْنَءَامَنُوْااتَّقُوْااللهوَقُوْلُوْاقَوْلاًسَدِيْدًايُصْلِحْلَكُمْأَعْمَالَكُمْوَيَغْفِرْلَكُمْذُنُوْبَكُمْوَمَنْيُطِعِاللهوَرَسُوْلَهُفَقَدْفَازَفَوْزًاعَظِيْمًا”.(سورةالأحزاب: آية٧۰–٧۱).

“Abange mwe abakkiriza, mutye Allah era mwogerenga bigambo bituufu, (Allah) abalongooseze emirimu gyammwe era abasonyiwe ebibi byammwe, oyo yenna agondera Allah n’Omubaka we, aba yeesimye olw’esiima lunene”.(Suurat al-Ah’zaab: 70-71).

أَمَّابَعْدُ:”فَإِنَّخَيْرَالْحَدِيْثِكِتَابُاللهِ،وَخَيْرَالْهَدْيِهَدْيُمُحَمَّدٍصَلَّىاللهعَلَيْهِوَسَلَّمَ،وَشَرَّالأُمُوْرِمُحْدَثَاتُهَا،وَكُلَّمُحْدَثَةٍبِدْعَةٌ،وَكُلَّبِدْعَةٍضَلاَلَةٌ،وَكُلَّضَلاَلَةٍفِيالنَّارِ” .

“Ebigambo ebisinga okuba ebituufu kitabo kya Allah, obulungamu obusinga okuba obulungi bulungamu bwa Muhammad (swalla Llaahu alaihiwasallama). Ebintu ebisinga okuba ebibi by’ebizuule (mu ddiini), buli kizuule kyonna kiba kigunje, ate buli kigunje kiba kya bubuze, ate nga buli kya bubuze kya muliro”.

(Ebigambo ebyo bye nzivuunudde mu Luganda era bye nfudde ennyanjula y’ekitabo kino, by’ebigambo Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihiwasallama) bye yagguzangawo okubuulira kwe, wabula tebikola ku kuwoowa kwokka).

LWAKI NAWANDIIKA KU MUZIMU?

Omuzimu kitondde mu bitonde bya Allah nga ebitonde ebirala. Wabula olw’okuba abantu tebagutegeera bulungi, kyabatuusa okugwa mu nsobi zino wammanga:

Okulowooza nti omuzimu gwe mwoyo gw’omuntu (naddala Abaganda).

Okulowooza nti omuntu bw’afa omuzimu gwe gubeera Ttanda (mu Ssingo).

Okulowooza nti omuzimu tegufa.

Okulowooza nti wateekeddwa okubaawo enkolagana wakati w’abantu nagwo (naddala ab’ekika ekimu nagwo).

Okulowooza nti gumala ebizibu ebiba mu kika.

Okulowooza nti emizimu gyonna Mikaafiiri!

Okulowooza nti mwoyo mutukuvu alinnya ku mitwe gy’abantu!

Okulaga ‘Abasiraamu’ nti okuleeta ‘zikiri‘ n’ofuna jazbah oba olinnyiddwa majiini. Soma ku mutwe ‘Abasiraamu abamu basinza emizimu’ mu kitabo kino.

Ebintu ebyo nga bwe mbimenye waggulu, ddala abantu bangi bwe batyo bwe babitwala omuli n’Abasiraamu abamu.

Akabi akali mu kulowooza nti omuzimu gwe mwoyo, kwe kuba nti kiviirako abantu okulowooza nti teriiyo kuzuukira era teriiyo muliro na Jjana. Anti baba balaba nga omuzimu (bbo gwe batwala nti gwe mwoyo), omuntu bw’afa gubeera ku byagwo, so ssi mu Jjana yadde mu muliro nga Allah bw’akyogerako.

Mu ngeri y’emu okulowooza nti omuntu bw’afa omuzimu gwe gubeera Ttanda, kiba kimenyawo ekimanyikiddwa obulungi era kye tulabako n’amaaso gaffe nti omuzimu gubeera we guba gwagadde, okusingira ddala ku bisigalira by’omufu.

Ate akabi akali mu kulowooza nti omuzimu tegufa, kiba kimenyawo Omubaka (swalla Llaahu alaihi wasallama) kye yagamba nti ‘…amajiini n’abantubifa’ nga bwe tunaalaba mu maaso eyo in-sha-Allah, ate nga omuzimu kika kya majiini.

Ate okulowooza nti wateekeddwa okubaawo enkolagana wakati w’abantu n’emizimu, kiviiirako abantu okukola shiriki olw’okwagala okussaawo enkolagana eyo. Singa Allah yali ayagala tukolagane n’emizimu oba n’amajiini, teyaalibitukwese.

Ate okulowooza nti omuzimu gumala ebizibu by’abantu, ekyo kiviirako abantu bangi okuddukira mu bigali oba mu masabo nga bafunye obuzibu ne bataddukira eri Allah, ate nga ekyo kikaafuwaza omuntu.

Ate okulowooza nti emizimu gyonna mikaafiiri nti era ze sitaani ekyo nakyo kikyamu nga bwe tunaalaba mu maaso eyo, kubanga ekya mazima kiri nti obwa sitaani eba nneeyisa ya kitonde so ssi buttonde bwakyo. Engeri gye kiri nti kikyamu okukaafuwaza atali mukaafiiri, mu ngeri y’emu kiba kikyamu okukaafuwaza buli muzimu ne bwe gutaba mukaafiiri.

Ekisembayo mu kabi akali mu butategeera kitonde muzimu, kiviiriddeko abantu bangi mu madiini amalala obutamanya nti ekibalinnya ku mitwe nga ‘basaba’ giba mizimu so ssi mwoyo mutukuvu.

Ndayira Omutonzi w’ebitonde oyo Abasiraamu gwe bakkiriza ate Abakaafiiri ne bamuwakanya, nti ekirinnya abantu abo ku mitwe gyabwe ssi kirala wabula giba mizimu na majiini! Ekyo kiva ku kuba nti abantu abo baabuwe tebamanyi mizimu. Kya nnaku nti ekitimba kya sitaani kino kyazingiramu n’abamu ku baali Abasiraamu nga bwe tunaalaba wansi w’omute (‘Abasiraamu’ abamu basinza mizimu).

N’olwekyo ezo z’ensonga ezantuma okuwandiika ku muzimu, ate nga nsonga nkulu nnyo nga naawe omusomi bw’olaba.

Pages: 1 2 3 4 5 6 7